Song of Solomon 1

1 aOluyimba lwa Sulemaani olusinga ennyimba zonna.

Omwagalwa

2 bLeka annywegere n’emimwa gye
kubanga okwagala kwo kusinga envinnyo,
3 cn’amafuta go gawunya akaloosa akalungi;
erinnya lyo liri ng’amafuta agattululwa,
era abawala kyebava bakwagala.
4 dBaako ne gy’ontwala, yanguwa!
Kabaka ansembezezza kumpi nnyo antutte mu bisenge bye.
Abemikwano

Tunaasanyuka ne tukujagulizaamu;
era tunaatendereza okwagala kwo okusinga envinnyo.
Omwagalwa

Nga batuufu okukwegomba!

5 eNdi muddugavu, ndi mulungi,
Mmwe abawala ba Yerusaalemi
muli ng’eweema ez’e Kedali,
Abantu b’e Kedali baali Bawalabu abaabeeranga mu bukiikaddyo obw’obuvanjuba wa Edomu. Baabeeranga mu weema ze baakolanga mu maliba g’embuzi enzirugavu.

era ng’entimbe za Sulemaani.
6 gTemuntunuulira kubanga ndi muddugavu,
olw’okuba omusana gunjokezza.
Batabani ba mmange baansunguwalira;
ne bandagira okukuuma ennimiro ez’emizabbibu.
Ennimiro yange ngigayaaliridde.
7 hNtegeeza ggwe gwe njagala, gy’oliisiza ekisibo kyo,
ne gy’owumuliza endiga zo mu ssaawa ez’omu ttuntu.
Lwaki mbeera ng’omukazi eyeebisse amaaso
nga nninaanye ebisibo eby’abanywanyi bo?
Abemikwano

8 iBw’oba nga tomanyi, ggwe omukyala asinga bonna obulungi,
goberera ekkubo endiga lye zikutte,
ogende oliisize embuzi zo ento,
okumpi n’eweema z’abasumba.
Owoomukwano

9 jOmwagalwa wange,
nkugeraageranya n’embalaasi esika amagaali ga Falaawo.
10 kAmatama go galabika bulungi ng’oyambadde ebikomo eby’oku matu,
n’ensingo yo nerabika bulungi ng’erimu eby’omu bulago eby’omuwendo.
11Tunaakukolera eby’oku matu ebya zaabu,
nga birina amapeesa aga ffeeza.
Omwagalwa

12 lKabaka bwe yali ng’atudde ku mmeeza ye,
akawoowo kange ne kamuwunyira bulungi.
13Muganzi wange ali ng’ensawo eya kaloosa aka mooli
Mooli kaloosa kalungi nnyo akakolebwa okuva mu balusamu nga kasangibwa mu Esiyopya, ne mu Buyindi, ne mu nsi za Buwalabu. Mooli yakozesebwanga ng’obuwoowo mu biseera ebyo
gye ndi,
ng’awummulidde mu kifuba kyange.
14 nMuganzi wange ali ng’ekiganda eky’ebimuli ebya kofera
Kofera kimuli ky’akaloosa kalungi, era kikolebwamu obuwoowo.

ebivudde mu nnimiro ez’emizabbibu ez’e Engedi.
Engedi nsulo y’amazzi esangibwa ku luuyi olw’obugwanjuba bw’Ennyanja ey’Omunnyo, era we luli wamerawo ebimera ebyakaloosa bingi.

Owoomukwano

15 qLaba, oli mubalagavu, omwagalwa wange
oli mubalagavu olabika bulungi.
Amaaso go mayiba.
Omwagalwa

16Olabika bulungi muganzi wange,
era onsanyusa.
Ekitanda kyaffe kya muddo muto.
Owoomukwano

17 rEmikiikiro gy’ennyumba yaffe mivule,
n’enzooba zaffe nkanaga.
Copyright information for LugEEEE